ZUULA EKYOKUKOLA
By Dick Francis Tumusiime
A LUGANDA LANGUAGE SUMMARIZED PUBLICATION TARGETING THE YOUTH TO HELP THEM DISCOVER BUSINESS OPPORTUNITIES AROUND THEM.
Tolina mulimu?
Tolina mulimu?
1. Olina omulimu naye teguvaamu sente
ezikumala?
2. Olina obukugu naye tomanyi kyakukola
? olina omuntu asobola okukuwa
entandikwa naye tomanyi kyakukola?
3. Olina sente ezitandikwa naye tomanyi
kya kukola ?
4. Olina sente ezitandika naye tosalawo kyakukola?
Ensonga nyingi ezigaana abantu okutandikawo ekyokukola? Ensonga nyingi
ezigaana abantu okutandikawo ebyokukola
. ekimu ku byo y’ndowooza gy’olina . oyinza okuowooza nti “sijja kutandika naye
sente ntono”, nze ebyo si byenasomerera , okulima kwa bawansi, nze
nteekwa kukola wano oba wali”
Naye weebuuze,
1. Abalala bakola ki?
2. Batndika batya? Nange nsobola okutandika?
3. Kiki kyenina okukola okutandika ?
4. Nze nsobola ki?
5. Kyetagisa sente meka?
6. Waliwo byensobola okutandika ne sente
entono ?
7. Ani asobola okumpa amagezi?
Obadde okimanyi nti
okutandika kwa mirundi mingi?
1. Osobola okukola abalala kyebakola naye n’obasinza empereza.
2. Osobola okukola abalala kyebakola
naye nosaba sente ntonoko ate nga omutindo mulungi.
3. Obobola okukola abalala kyebakola
naye n’olongosa mu.
4. Obobola okukola kyekimu naye awalala
eyo gyekitali.
5. Osobola okwetegereza ebizibu byabo abakwetolodde n’obifunira
eddagala abantu n’ebakuwa sente.
6. Osobola okugezesa obukugu oba
obumanyirivu bwo n’osomesa ebyo by’omanyi.
7. Osobola okukosesa obulungi byo byolina mu bulamu bwo ng’ettaka ,ebintu
ebikadde , eby’omunyumba nga kompuuta, kamera, essimu,n’ebirala
8. Osobola okwetegereza ebizibu
by’abaana , abakulu, abakyala ,n’abaami, n’obagyuza bye beetaaga singa abalala
batunda engatto z’abakulu gwe
osobola okutunda okuleeta ez’abato.
9. Singa abaana bagenda mu “Didi’s world
ate bo abakulu bagenda wa.
10. Osobola okwanguyiza abantu obulamu
n’obawereza nga kyebabadde basanga kizibu nnyo okukozesa kibanguyira ;
katugambe waliwo ebitaabo ebizibu okukozesa . wali olabyeko ebitabo nga biliko
“MADE SIMPLE?”
11. Kozesa byosoma mu mawulire okufuna
ebirowoozo : singa bakuga=mba nti abantu 30 ku buli 100 tebamanyi kusoma na ku
wandiikka , okufunamu ki muekyo?
Bwoba oyogala okumanya abantu abalala byebakola, engeri gye batandikamu, engeri gyebakola bisinensi emyaka nemyaka,
kolagana ne DICK TUMUSIIMEdirector,
Difra language services, 0772457606/0704912519. Platinum house wagulu wa paaka
enkadde omwaliro ogw,okusatu ekisenge
c-15.
Email. Dictumusiime@yahoo.com
BINO BIKULU NNYO
1. Beera ne suubi buli kiseera . togwamu
many inti ebintu tebisoboka
2. kola kyoteekwa okukola mukiseera w’ofunidde omukisa .togamba nti nja
kukitandikako enkya ate nga osobola okukikola kati.
3. Olina okwekiririzaamu n’ekyo
ky’ogenda okukola . tokitandika n’okireka oba n’okivaako mangu. Wulira
bakasitoma byebagamba olongose mu
mpereza.
4. Omuntu azze okukugulako olina
okumufaako alyoke akomewo oba akusindikirevabantu abalala . Togoba kasitoma nti
kubanga tolina “change” nti olina sente
nnene sooka ogende ozivungise .
5. Yiga okusalawo amangu abantu oleme
kubalwisa .
6. Olina okuttegera obukugu bwo oba
obumanyirivu bwo gye bukoma.byotosobola biwe abo ababisobola .
7. Wetegereze ensi bwetambula naawe
okole ng’ogenderera ensi bweri.ekyokulabirako ,enaku zino abantu baagala nnyo
okipangisa “gardens”okukoleramu embaga naye ate gwe olina ekifo kyoyinza
okulongoosa nekifuuka “gardens?”
8. Okuyiiya kikulu nnyo. Oyinza okukola
abalala kyebakola naye oyina okuyiya ekipya .obukodyo bungi obweyambisibwa
okuyiya .okuyiiya (ntuukirira mbikuritiremu)
9. Biki ebikusanyusa mu bulamu bwo
?okasobola okuyiiya ekyokukola ng’osinzira ku ekyo ekikusanyusa .
Bwoba bwoba oyagala nnyo
okusoma obutabo ng’olina obutabo obuwera ekikumi bano basobola okubukeyazikako
nga bakuwaamu sente .oyagala nyo okuzanya omupiira , osobola okusoma obutendesi
bwagwo.
10. Fuba nnyo okwetegeera na biki
byosinga abalala eryo naryo kubo mwoyinza okuyita okwetandikirawo omulimu.
11. Kozesa abantu b’omanyi nokufuna
akatale k’ebyo by’ogenda okukola .
12. Empisa ne neeyisa bintu bikulu nnyo .
abantu bakumanye nga omukwata mpola , omwesigwa, omugumikiriza ,eyeewa
ekitiibwa asaamu bantu abalala ekitiibwa
,awuliriza ensonga za banne oba nedda.
13. Abntu balina okukumanya kiki kyoyunda
oba kiki ky’owereza . weyogereko bwofuna omukisalaga laga mu ngeri eze njawulo
nga bwe kisoboka .
14. Funa omuntu akusinga ko mu kyokola
omwebuzeeko amagezi.
15. Kozesa abntu abamanyi
kyebakola.:kolagana nabo oba kwatagana naabo abasobola okutuusa ku ba kasitoma
bo empeerezayo entuufu.
16. Londa ekifo abantu webanakusanga nga
tebakalubilirwa .
17. Ebbeyi yo etekwa okuba nga si yawansi
nnyo ate nga si yawaggulu nnyo.olina okubalirira sente meka z’otaddemu na meka
z’osubira okufunamu.
Katugambe ekintu k’yotaddemu
enkumi ssatu okitunda sente meka ?
18. Buli kintu kirina emitendera .topapa
nga oyagala okukola ebyamangu n’obuuka emitendera .bwob wakatandika bisinensi
giwandiise, funa wokolera n’ebirala
olyoke otandike.
19. Abantu banakusanga wa? Ekifo ekyo
kiraga nti kinabeerawo enya oba kibuzabuza?
20. Si kirungi kupangisa ku mupangisa mu
nno!
21. Genderera omutindo gwempereza yo .
22. Kiriza byosobola ne by’otosobola.ate
ebintu bwe bigaana naawe obera okiraba .tokyesibaako . “know when to quit”
23. Tewakaluubiriza bulamu. Ebintu
ebyangu bye biyamba mu bisuness. atunda akatogo afuna ayinza okusinga owa chips
.owa katemba oba ayimba mu Luganda ayinza okufuna okusinga ow’olungereza.
24. Tekakako enkola enekusoboseza
okutambuza emirimu gyo newankubadee nga ofulumyeko oba olwo olunaku nga tokoze
25. Weyambise amawulire g’olina okusaawo
kyolina okukola. singa otegera nti mu Uganda ebitalin eky,okuna oba ekyomukaaga ate nga oyagala
kuzzimba ssomero ,ogenda kuzimba wa?
26. Kolagana ne banno bulungi (team
work)okutambuza okutambuza emirimu
gyammwe obulungi
27. Bisinensi yo elin njawulo ki ne ndala?
fuba nnyo okulaba nga bisinensi yo elina ebirungo ebisinga ku byabalala.
28. Omulimo gwo guwe ekitiibwa.tokerewa
ku saawa ez’ukola oba okukyaza abagenyi ku mulimu.
29. Olina okumanya obuzito bwo oba
kyolina okufuna nga empeera .
30. Twerabiranga enkola ya zig-zag singa
gwovuganya naye agulawo saawa bbiri gwe
gulawo emu , oli bwaba ayagala ba dereeva
basajja gwe ba na abakazi.
Jukira bino nti;
emirimu bitono naye ebyokukola bingi
DIFRA LANGUAGE SERVICES
YATANDIKA ETYA?
Nze dick francis tusiime mu 1990 nali maze emyaka munaana nga nkolera mu Barclays bank Uganda limited gyenayingira nga mmazze e Makerere emisomo gy’e by’obusububuzi.(Bcom).
Okuva mu banka nail setegese kuvaayo awo nnesanga ng’obulamu
buzibu nga sirina wentandikira .
Nali nsula mu nyumba nga abankosesa be baginsasulira ;emotoka
ne ngitunda nengitunda okusasula ebbanja ate enyumba nga si kyasobola ku
gipangisa . mukwano gwange omwami Patrick magezi gwenali nsomye naye e makerere ate nga
muliranwa e kireka ye yanyamba ye gye yali akyazimba naye nga tenagwa bulungi
.olwo nentandika kunonya mulimu naye nga tegulabika ate nga nina okutambula
okuva e kireka okujja e kampala ne muganda
wange Monika Ayebazibwe eyali asomera ku old Kampala mu kiseera ekyo.
Lumu nalowooza nti lwaki siteeka ekirango mu mawulire oba oli
awo nsobola okufuna omulimu .nnateeka , akalango mu weekly topic nga kagamba ;JOB WANTED (Bcom) graduate
aged 30 seeks new employment speaks French and german . contact …po box…
kampala . mu wiiki emu nali nfunye amabaluwa ataanoemu nga eva mu blacklines
house gye nagenda nenkola interview nempita awo nentandika okukola . kyali kikulu ku nze kubanga awo nali nsobola okufuna ebyokulya
wamu n’esuubi.
Awo nakolera emyezi mitono nensalawo okwekozesa nga njagala
okusomesa olufalansa.nagenda ku YMCA
gyenali memba mu luwummula lwa decemba
ne mbasaba ekisenge omwokukolera . awo ne nfuna abantu abaali baagala
okuyiga olufaransa . oluvanyuma bwe lwagwa nenvaayo nengenda mpangisa ne hotel equatorial nga
agenda mu katale ke wa kisekka n’omuyizi omu eyali akolera mu Tanzania highcommission eyasasulira
ekisenge ketwasooka okukoleramu nga batono nnyo.So nenkyusa nengenda
n’ekyo abantu kye bali baagala.
Oluusi abavubuka bambuuza nti ekiruubirara kyange kyali ki
mukutandika ekintu kino?kyatwalira obudde okutegeera nti mu Uganda mulimu
abantu bangi abatamannyi kusoma newankubadde okuwandiika ng’ogyeko okusoma
olungereza . kati mu 2010balikumpi 30%. Ekitegeeza nti abantu nti obukadde kumi
tebumanyi kusoma nakuwandiika . bwobuuza kati lwaki DIFRA LANGUAGE SERVICES
weeri nkwanukula nga ngamba nti twagala bantu batamanti kusoma
n’akuwandiikannimizaabwe n’endala
okusobola okuziyiza kibayambe okweyimirizawo n’okwekulakulakulanya nga
bayise mu kutabagana n’bantu abalala obulungi.
Biki byosobola okuyiga mu
bino?
1. Osobola okutandika omulimu
ng’osomesa abalala gwe kyomanyi.
2. Osobola okutandika awantu wonna .
3. Olina okuba nga ekintu ekyo kyogenda okukola
okyagala nnyo.
4. Otekwa okubera n’obumalirivu obutadda
mabega
5. Sente si kye kikulu wabula “ idea”ekugyamu
ng’omuntu.
6. Otekwa okuwereza obulungi oyo asoose
okujja alyoke aleete abalalanabo obayise bulungi balyoke baleete abalala .
Ebirara ebisinga wo asobola okubifuna
okuva mu ofiisi eri ku platinum house, waggulu wa paaka enkadde.
Contact Difra Language Services for a Hard Copy Book.
Email: difralanguage@gmail.com or difra1990@gmail.com
Tel: 0704 912519 or 0772 457606
No comments:
Post a Comment